Загрузка страницы

Namugereka Katonda | Chorale de Kigali | Concert 2021

#Namugereka #Uganda #Catholic #Songs #Music #Church #Meditation #Chorale #Kigali #Rwanda #Arena #2021

Song : Namugereka Katonda
Composed by Ponsiano Kayonga Biva
Chorale de Kigali
Christmas Carols Concert 2021
December 19th, 2021

(Lyrics)
R. Namugereka Katonda Omukumi wange,
Ggwe buggaga bwenterese;
Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange.
Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange;
Mukama essubi ly’abanoonya,
Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy’obeera.

1. Jjinja ery’omuwendo erinnonyezebwa wonna
Ye ggwe ayi Mukama.
Akusanga aba yeesimye ggwe anti
Entabiro y’ebirungi byonna;
Ssegomba bitiibwa bya nsi enno,
Buggaga na masanyu gabyo,
Bayita kkuutwe; ayi Mukama w’oli biba kantu ki?

R. Namugereka Katonda Omukumi wange,
Ggwe buggaga bwenterese;
Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange.
Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange;
Mukama essubi ly’abanoonya,
Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy’obeera.

2. Ku bakwemaliza ggwe ssanyu ye ggwe dembe,
Ggwe maanyi ga balwanyi
Abakuwereza olibaweera, ggwe
Ow’obwenkanya omuzirakisa
Abakwesiga – tebaliswaala.

R. Namugereka Katonda Omukumi wange,
Ggwe buggaga bwenterese;
Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange.
Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange;
Mukama essubi ly’abanoonya,
Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy’obeera.

3. Abakweyuna abo beesimye balimatira,
Balijuka ki?
Balibulwa ki ate abakusenga nga ggwe olina byonna?
Ggwe nnyini byonna, ggwe ntabiro,
Ensulo y’ebirungi eby’olubeerera.

R.Namugereka Katonda Omukumi wange,
Ggwe buggaga bwenterese;
Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange.
Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange;
Mukama essubi ly’abanoonya,
Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy’obeera.

Видео Namugereka Katonda | Chorale de Kigali | Concert 2021 канала CHORALE DE KIGALI
Показать
Комментарии отсутствуют
Введите заголовок:

Введите адрес ссылки:

Введите адрес видео с YouTube:

Зарегистрируйтесь или войдите с
Информация о видео
12 января 2022 г. 12:47:32
00:04:33
Яндекс.Метрика