Загрузка страницы

NSANYUKIRA EKIGAMBO KINO - (ANJAGALA, ANJAGALA)+ ENGLISH LYRICS

Nsanyukira ekigambo kino
Yesu Mukama atwagala nnyo:
Bilimu bingi ebinsanyusa;
N'eky'ekisinga nti Nze kwagala.
Anjagala, Anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagala olw'ekisa kye,
Nange era mmwagala.
Bwe mba nnyonoona ne mmwerabira,
Yesu tandeka kubula ddala:
Ampita mangu (o)kumweyuna ye;
Era anjijukiza okwagala kwe;
Anjagala, Anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagala olw'ekisa kye,
Nange era mmwagala.
Bwe nditunuulira ekitiibwa kyo,
Ndiyimba ntya, bwe siyimba bwe ntyo?
Nnyimba (e)mirembe n'emirembe,
Yesu kiki ekyakunjagaza nze?
Anjagala, Anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagala olw'ekisa kye,
Nange era mmwagala.
Anjagala, era mmwagala ye:
Yakka mu nsi olw'okwagala kwe;
(O)kwagala kwamuleeta ku muti;
Yesu atwagala ffe bwagazi.
Anjagala, Anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagala olw'ekisa kye,
Nange era mmwagala.
Anjagala, Anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagala olw'ekisa kye,
Nange era mmwagala.

#EnyimbaZaKristo #ShieldOfFaith
enjatula mu #luganda #lyrics #YesuAsiimwe

#Anglican #ChurchOfUganda and Catholic transcribed by Joshua Ayebare.

Видео NSANYUKIRA EKIGAMBO KINO - (ANJAGALA, ANJAGALA)+ ENGLISH LYRICS канала SHIELD OF FAITH
Показать
Комментарии отсутствуют
Введите заголовок:

Введите адрес ссылки:

Введите адрес видео с YouTube:

Зарегистрируйтесь или войдите с
Информация о видео
1 ноября 2018 г. 20:31:37
00:03:56
Яндекс.Метрика